| Busoga yaakulonda Kyabazinga | ||||
|
|
Gavt etaddewo akakiiko okutabaganya Abasoga, basobole okulonda Kyabazinga omuggya; akakiiko kano akakulirwa Paul Wagoola kaliko Baminisita Specioza Kazibwe ne Kirunda Kivejinja. Abatuuze b'e Katanga kumpi n'e Wandegeya bawaandiikidde Kaliisoliiso Raphael Bako ne pulezidenti Museveni nga basaba amyuka cansala wa Makerere, Vernasius Baryamureeba agobwe; nga bakulemberwa Hassan Ssegawa, bagamba nti Baryamureeba yasenze enju zaabwe ng'ate ettaka kwebali erya eka 6 sirya Makerere nga bwekirowoozebwa. Akakiiko ka Palamenti akaloondoola ensimbi za Gavt katadde minisitule y'ekikula ky'abantu kunninga erage ensaasaanya y'ensimbi obukadde 160 obwasaasaanyizibwa mu lukungaana lw'Abavubuka Abasiraamu olwali mu Kampala; ssentebe wa PAC, Nandala Mafabi alabudde nti abakungu abaakwasibwa ssente zino baakuvunaanibwa. Abakulembeze ba Afrika abali mu lukungaana lwa AU bassizza kimu okwongera amagye mu Somalia, okusobola okusiguukulula abatujju ba al-shabab; era baagala enfo za al-shabab zirumbibwe. Baminisita b'ensonga z'ebweru mu mukago gwa Bulaaya batadde nnati enkakali ku Iran, mu kiwenda ky'okugiremesa okukozesa amaanyi ga nukiliya mu kukola amasannyalaze; batadde nnati ku by'obusuubuzi byayo, okutambuza ensimbi, wamu ne ku mafuta. Gavt ya Venezuela eyongedde okunyweza eby'okwerinda byayo ku nsalo ne Colombia, olw'embiranye eriwo nga Colombia egamba nti Abagiyeekera beekukuma mu Venezuela;Pulezidenti wa Venezuela, Hugo Chavez agamba nti Colombia enoonya weewakulira lutalo lw'emyaka 100. |


